Psalms 7

Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama ng’efa ku Kuusi Omubenyamini.

1 aAyi Mukama, Katonda wange, neesiga ggwe:
ngobaako bonna abangigganya era omponye,
2 bsi kulwa nga bantagulataagula ng’empologoma
ne bankutulakutula obufiififi ne watabaawo amponya.

3 cAyi Mukama, Katonda wange, obanga nkoze kino,
era ng’engalo zange ziriko omusango,
4obanga waliwo andaze ebirungi nze ne si muyisa bulungi,
oba nzibye omulabe wange awatali nsonga:
5Kale, abalabe bange baleke bangoberere bankwate,
bankube wansi banninnyirire,
banzitire mu nfuufu.

6 dGolokoka, Ayi Mukama, mu busungu bwo oziyize abalabe bange abajjudde obukambwe.
Golokoka, Ayi Katonda wange,
onnyambe ggwe asala omusango mu bwenkanya.
7Kuŋŋaanya bannaggwanga bonna okukwetooloola;
obafuge ng’oli waggulu ennyo.
8 eGgwe, Ayi Mukama, Ali Waggulu Ennyo,
asalira amawanga gonna emisango,
osale omusango gwange Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
era n’amazima agali mu nze bwe gali.
9 fAyi Katonda omutukuvu,
akebera emitima n’emmeeme;
okomye ebikolwa by’abakola ebibi:
era onyweze abatuukirivu.

10 gKatonda Ali Waggulu Ennyo ye ngabo yange;
alokola abo abalina omutima omulongoofu.
11 hKatonda mulamuzi wa mazima;
era alaga ekiruyi kye buli lunaku.
12 i Mukama awagala ekitala kye
n’aleega omutego gwe
ogw’obusaale.
13Era ategese ebyokulwanyisa ebissi;
era akozesa obusaale obw’omuliro.

14 jOmuntu ajjudde ebibi afuna emitawaana,
n’azaala obulimba.
15 kAsima ekinnya, n’akiwanvuya nnyo;
ate n’akigwamu ye kye yasimye.
16Emitawaana gye gimwebunguludde;
n’obukambwe bwe bumuddire.

17 lNneebazanga Mukama olw’obutuukirivu bwe;
nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lya Mukama Ali Waggulu Ennyo.
Copyright information for LugEEEE